Song of Solomon 7

1 aEbigere byo nga birabika bulungi mu ngatto,
ggwe omumbejja!
Amagulu go gali ng’amayinja ag’omuwendo,
omulimu gw’omuweesi omukalabakalaba.
2Ekkundi lyo kibya kyekulungirivu,
ekitaggwaamu nvinnyo entabule obulungi.
Ekiwato kyo ntuumu ya ŋŋaano
eyeetooloddwa amalanga.
3 bAmabeere go gali ng’abaana b’empeewo,
abalongo.
4 cEnsingo yo eri ng’omunaala ogw’amasanga.
Amaaso go gali ng’ebidiba eby’omu Kesuboni
ebiri ku mulyango ogw’e Basulabbimu.
Ennyindo yo eri ng’omulongooti ogw’e Lebanooni
ogwolekera Ddamasiko.
5 dOmutwe gwo gukuwoomera ng’olusozi Kalumeeri,
n’enviiri zo ziranga emiguwa egy’effulungu;
Kabaka asendebwasendebwa ebintu byakwo.
6 eNg’olabika bulungi, ng’osanyusa
ggwe omwagalwa n’obulungi bwo.
7 fOli muwanvu ng’olukindu,
n’amabeere go gali ng’ebirimba eby’ebibala byakwo.
8 gNayogera nti, “Ndirinnya olukindu,
era ndikwata ebibala byalwo.”
Amabeere go gabeere ng’ebirimba eby’oku muzabbibu,
n’akawoowo ak’omu kamwa ko ng’ebibala eby’omucungwa
9 hn’akamwa ko nga nvinnyo esinga obulungi.
Omwagalwa

Ne wayini amirwe bulungi muganzi wange,
ng’akulukuta mpola mpola ku mimwa gy’abo abeebase.
10 iNdi wa muganzi wange,
era naye anjagala nnyo.
11Jjangu, muganzi wange tugende ebweru w’ekibuga,
tusuleko mu byalo.
12 jTukeere tugende mu nnimiro z’emizabbibu,
tulabe obanga emizabbibu gimulisizza,
obanga n’ebimuli byagwo byanjuluzza,
obanga n’emikomamawanga gimulisizza,
era eyo gye nnaakulagira okwagala kwange.
13 kAmadudayimu
Amadudayimu gayamba mu by’okuzaala
gawunya akawoowo,
ne ku miryango gyaffe waliwo ebibala ebisinga obulungi,
Ebyakanogebwa awamu n’ebikadde,
bye nkuterekedde muganzi wange.
Copyright information for LugEEEE